Bakamyufu Bakubya Laddu!!

Mu bitundu byaffe gyetuwangarira  ekigambo “Kamyufu” kya bulijjo era bangi bakimanyi ng’omuntu ayinza okukola okuyunga amasanyalaze oba okukola wayaringi mu nnyumba. Abakozesa b’amasanyalazze bayina okukimanya nti okukozesa ba kamyufu mbu mbeera yona ekwatagana n’amasanyalaze, kya bulabe nyoo era kino kikubya laddu kubanga Amasanyalaze si kitu kya kuzannya!

Tulina okumanya nti amasanyalaze ky’ekimu ku bintu ebikulu ennyo mu bulamu bwaffe obwa leero. Gatuwa ekitangaala, gatuweesa ssente, gatusobozesa okukola emirimu egy’enjawulo. Wabula singa wayiringi y’ebizimbe omuli ebisulwamu oba eby’emirimu tekolebwa mukugu era ku mutindo ogusanidde, kisobola okuleeta obuzibu omuli, ennyumba okukwata omuliro, okufiirwa ebintu si kasinge n’obulamu.

Ekitongole ki Electricity Regulatory Authority (ERA), gavumenti kyeyakwasa obuvunanyizibwa nga kalabalaba kubya Masanyalaze byona mu Uganda, okutandikira mukungasunda, okugatambuza okulaba nti amasanyalaze gatuuka ku bantu mu bitundu byonna ebya Uganda, n’okugasasanya okukakasa nti buli muntu afuna amasanyalaze ag’omutindo, era bekenenya era nebakakasa abantu abalina obuyigirize era obumanyirivu mu kuyunga amayumba ku masanyalaze ssako n’okugawayaringa, abamanyiddwa nga ba Pawakapo.

Omuntu yenna ayagala okuwayiringa ennyumba asobola okukebera ku mutimbagano gwa www.era.go.ug, okulaba nti oyo gw’agenda okukozesa alina olukusa era pamiti okuva mu ERA.

Buli Pawakapo w’amasanyalaze alina okusooka okukakasibwa nti alina obukugu n’obumanyirivu okukola wayiringi okusinzira ku pamiti gyabayawebwa.

EBIKA BYA BA PAWAKAPO N’EMIRIMU GYE BASOBOLA OKUKOLA

🔹 Class A – Bano basobola okuyunga amasanyalaze gonna agali wansi wa 132kV (kilovolts). Bateekwa okuba ne diguli mu by’amasanyalaze okuva mu yunivasite.

🔹 Class B – Basobola okuyunga amasanyalaze okutuuka ku 33 kV. Bano balina okuba ne dipuloma mu masanyalaze okuva mu yunivasite oba amatendekero agasomesa eby’amasanyalaze.

🔹Class C ─ Bano bavunaanyizibwa mu kuyunga nnyumba n’amaduuka okutuuka ku 415V (volts). Balina okuba ne Advanced Certificate mu masanyalaze.

🔹 Class D – Bano bakola ku mirimu egitasukka 240V. Balina okuba ne Craftsman Certificate (Grade 1 oba 2) oba Workers Pass.

Waliwo abantu abandiyagadde okwenyigira mu mulimu gw’okuwayaringa amasanyalaze naye nga tebaafuna mukisa kusoma. Wabula ERA ewa abantu bano omukisa okuyigira mu matendekero  ag’enjawulo nga Directorate of Industrial Training, St.Joseph’s Technical Institute Kisubi, Nakawa Vocational Institute, Ntinda Vocational Institiute ,Uganda Technical College – Lira n’amalala mangi. Okutendekebwa kuba kwa myeezi essatu era oluvanyuma bawebwa kyebayita Workers Pass, era nga basobola okuwayaringa ennyumba eza bulijjo.

Abakozesa b’amasanyalaze balina obuvunaanyizibwa okugoberera ebirambikiddwa eby’okwekuuma nga okozesa amasanyalaze, okukuuma obulamu bwabe n’abalala n’okwetangira obubenje obuva mu kukubwa amasanyalaze.

Abakozesa bamasanyalaze era balina obuvunaanyizibwa okuyita Pawakapo akebere embeera ya wayiringi za amayumba oba ebizimbe byabwe wakili omulundi gumu mu myaka etaano. Olw’ono kigyabazobozesa okudabiriza wayiringi eyinza okuba nga yakadiwa. Kino kiziyiza obubejje obuva ku masanyalaze anti okwerinda si buti ensanafu etambula egarude.

Bya Mariam Ramathan Nanono

Omuwandiisi awereeza mu Electricity Regulatory Authority.

 

Share This

Email a Friend
LinkedIn
WhatsApp
Print

Related Articles

Skip to content